Club y’omupiira omuzannyira munnauganda omukwasi wa goolo Dennis Masinde Onyango eya Mamerodi Sundowns,esitukidde mu liigi ya babinywera eya South Africa omulundi ogw’okutaano ogw’omudiringanwa.
Mamerodi Sundowns okutuuka ku buwanguzi egudde amaliri ga 0 – 0 ne club ya Cape Town City eri mu kifo eky’okusatu.
Mamerodi Sundowns ewangudde liigi eno okuva mu season ya 2017/18 okutuuka kati.
Dennis Onyango kati awangudde liigi ya South Africa omulundi ogw’omwenda.
Ebikopo mukaaga abiwangudde ne club ya Mamerodi Sundowns, ate ebikopo bisatu yabiwangula ne club ya Supersport United.
Onyango yaliko captain wa Uganda Cranes,era yali mukwasi wa goolo.
Mamerodi Sundowns ewangudde ekikopo n’obubonero 58, ng’esingako Royal AM eri mu kifo eky’okubiri obubonero 13.
Royal AM erina obubonero 45, ng’ebulayo emipiira 4 okuggalawo liigi eno.
Mamerodi Sundowns egenze okuwangula liigi eno nga club ya Petro De Luanda eya Angola, yakamala okugiwandula mu mpaka za CAF Champions league baabadde ku mutendera gwa quarterfinals.