Omusajja Christopher Okello Onyum agambibwa okukkakkana ku mabujje nagasanjaga ku ssomero lya Ggaba Early Childhood Development Centre , Makindye Division agguddwako emisango 4.
Okello Onyum asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka Nanjala Aidah, amusomedde emisango gino, era tamukkiriza kubaako kyayogera naalagira azzibweyo mu kkomera e Luzira, akomezebwewo enkya ku Wednesday nga 08 April,2026.
Oludda oluwaabi olukulembeddwamu Jonathan Muwaganya ne Anna Kiiza okuva mu wofiisi ya Ssaabawaabi w’emisango gya government lutegeezezza nti nga 02 April,2026, Christopher Okello Onyem yalumba essomero erirabirira abaana abato eryt Ggaba Early Childhood Development Centre mu Makindye Division mu Kampala, natema abaana abamu naabatta abalala nebasigala n’ebisago.
Abaana beyatta ye Eteku Gideon, Keisha Agenorwoth Otim, Sseruyange Ignitiu ne Odeke Ryan.#
Bisakiddwa: Betty Zziwa













