Ekibiina ekiddukanya omupiira ku semazinga Africa ekya CAF, kirangiridde nti kyongezayo empaka za African Nations Championships CHAN ez’omwaka guno 2025, okwongera okuwa omwaganya amawanga agagenda okutegeka empaka zino, Kenya, Uganda ne Tanzania, okwetegeka obulungi.
Empaka za CHAN zibadde zigenda kuzannyibwa okuva nga 01 okutuuka nga 28 omwezi ogujja ogwa February, wabula kati zongezedwayo okutuuka mu mwezi gwa August omwaka guno 2025.
Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa CAF, kiraze nti abakulira obukiiko obw’emirimu egy’ekikugu n’ebintu byonna ebigenda okukozesebwa mu mpaka zino, bakakasizza nti kibadde kyetaagisa okuwa obudde amawanga okwongera okuteekateeka ebisaawe, ebisulo, amalwaliro n’ebirala.
President wa CAF DR Patrice Motsepe, yebazizza abakulembeze okuli president wa Uganda Yoweri Kagutu Museveni, owa Kenya William Ruto ne Tanzania Samia Hassan Suluhu olw’amaanyi gebataddemu okwetegekera empaka zino.
Bakakasizza nti ebikoleddwawo biwa essuubi, era werunaatukira mu August tewajja kuba kwekwasa kulala.
CAF era ekakasizza nti ennaku ez’okuzanyibwako empaka zino mu mwezi ogwa August zijja kulangirira gye bujja.
CAF era ekakasizza nti obululu obw’ebibinja obw’empaka zino bugenda kukwatibwa enkya ku Wednesday nga 15,January,2025 e Kenya, nga bwe kyalangirirwa edda.
Uganda Cranes mu kwetegekera empaka zino ebadde yayingidde enkambi n’abazannyi 28 ku Cranes Paradise Hotel e kisaasi n’omutendesi Paul Joseph Put.
Empaka za CHAN zetabwamu abazannyi bokka abazannyira mu mawanga gabwe, era Senegal be bannantamegwa b’empaka ezasembayo ezaali mu Algeria.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe