Abakungu okuva mu kibiina ekiddukanya omupiira ku semazinga Africa ekya CAF, bataka mu Uganda nga bazze okwongera okwetegereza Uganda wetuuse mu kwetegekera empaka za CHAN ez’omwaka guno 2025.
Empaka zino zigenda kuzannyibwa okuva nga 02 okutuuka nga 30 August,2025.
Empaka zino zigenda kutegekebwa Uganda, Kenya ne Tanzania.
Abakungu ba CAF nga bakulembeddwamu Samson Adamu, bagenda kulambula ebisaawe, amakubo, ebisulo nebirala ebigenda okukozesebwa mu mpaka zino.
Uganda mu mpaka zino eri mu kibinja C ne Niger ne Guinea, wabula bajja kwegatibwako ttiimu endala 2 ezikyalina okuyita mu kasengejja.
Empaka za Chan zetabwamu abo abazannyi bokka abazannyira munsi zabwe.
Senegal be bannantamegwa b’empaka ezasembayo.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe