EBIBIINA BYÉ SSEMBABULE BIKOZE SACCO EWADDE BANNAMAWOGOLA EMIRIMU
Ebibiina by’abawuliriza ba Cbs Funs Club byonna mu Ssaza Mawogola, bikungaanye mu ngeri eyenjawulo okwongera okwekubamu tooki, n’okutema empenda ez’okwongera okukulakulana.
Ebibiina bino biri kkumi okuli Kyabi A Cbs fans clib, Kyabi B cbs fans Club, Kyabi C Cbs fans club, Misenyi cbs fans club, Kasongi cbs fans club, Lutunku cbs fans club, Sserinnya cbs fans club, Nakasagazi cbs fans club, Nambiriizi cbs fans club ne Ssembabule cbs fans club.
Bannabibiina bino baatandiseewo Sacco ebigatta eyitibwa Ssembabule district CBS Pewosa Sacco.
Bannabibiina bino bakungaanidde ku B14 Leisure park e Ssembabule, okwezza obuggya, okwagazisa abalala okubegattako, okutema empenda ezibatwala mu maaso, n’okubalambika ku nzirukanya ya Sacco.
Bebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’okulengerera awala n’abatandikirawo CBS Radio mwebayise nga bagiwuliriza, nebegatta mu bibiina, nebatandika okweterekera ku nsimbi, bewola n’okwekulaakulanya.
Omukwanaganya w’ebibiina bya Cbs Fans Club muggwanga lyonna era nga yakulira ebitongole by’amawulire ku Cbs fm, Omuk. Godfrey Male Busuulwa y’abadde omusomesa omukulu.
Abakubirizza okwewala engambo nti yekanaaluzaala mukutta ebibiina by’obwegassi, abakuutidde okukuuma obutonde bwensi n’okwenyigira mukukola bulungibwansi.
Omuk. Godfrey Male Busuulwa era abasabye okweggyamu omutima ogutaagaliza, nabawa amagezi nti bewagire mu mirimu egyenjawulo gyebakola, okulima emmere ebamala okulyako n’okutunda awamu nookuweerera abaana.
Omukungu wa District avunanyizibwa ku bwegassi, obutale, obusuubuzi n’amakolero, Ddungu Simon Peter atenderezza aba Cbs Fans Club bano olw’okutambulira ku misinde mu buli kyebakola.
Yebazizza CBS olw’enteekateeka eno ey’okutambulira awamu n’abawuliriza baayo, ate nga teriimu kusosolo mu mawanga wadde eddiini nasaba abantu okwongera okujjettanira.
Bagagga Moses ne Sserwanga Moses abakulira abawuliriza ba Cbs ne Board ya Sembabule District Cbs Pewosa Sacco, bagambye nti okusajjakula kwebatuseeko nebatandikawo Sacco kibawonyezza abantu abengalo empanvu, ababadde babba ensimbi zabwe mu bu bokisi mwebabadde batereka mu byalo.
Abasomesa abalala okubadde Ssalongo Lutaaya Issa Isma ne Muganga Emmanuel basomeseza bannassnabule bano ku bigendererwa by’okutereka awamu n’okwegattira mu bibiina.
Babawadde amagezi ag’okwongera okukola ennyo okwerwanako okuva mu bwavu, okukyusa embeera yabwe awamu n’ensimbi z’ebowoola okuzissa mu bintu ebikola amagoba.
Ebibiina by’abawuliriza ba Cbs byonna ekkumi ebiri e Ssembabule buli kimu kirina polojekiti gyekyatandikawo, mulimu ebirima emmwanyi n’okuzisuubula, birina ensuku, birina ebijanjaalo ne kasooli, birina ebikozesebwa ku mikolo nga tent n’obutebe, birunda ente awamj n’enkoko ennansi n’ebirala.
Sacco gyebyatandiseewo eya Ssembabule district CBS Pewosa Sacco eriko bannabibiina abalina obusobozi bewadde emirimu, emirala egiwadde baana babwe, saako n’abatuuze abalala mu ssaza Mawogola okutwalira awamu.
EBIBIINA BYA CBS FANS CLUB BISIMBYE EMITI E NSONGA MU KYAGGWE
Ssenkulu wa Radio ya CBS omukungu Michael Kawooya Mwebe akubirizza abawuliriza ba CBS okunyiikira okukuuma obutonde bw’ensi n’okuweerera abaana.
Bibadde mu bubaka bwe obumusomeddwa avunanyizibwa ku mbeera z’abakozi mu CBS Joan Nabagesera, ku mukolo gw’eebiibina bya cbs fans club ogubadde e Nsonga mu Kyaggwe.
Omukungu Kawooya Mwebe ategezezza nti okuzaawo obutonde bwensi kyekimu kubigenda okutaasa egwanga Uganda, mu ngeeri yemu ajukiza abantu okukuuma obuwangwa bwabwe.
Bannabiniina era besimbye emiti ng’emu ku nteekateeka y’okuzzaawo obutonde bw’ensi.
Ate ye omwami we ssaza Kyaggwe Ssekiboobo Ssalongo Elijah Bogere mu bubaka bwatisse omumyuka w’omwami w’egombolola ye Nakisunga mutuba gumu ,asabye abantu ba Kabaka okujumbira okulima emmere okwegobako enjala n’obwavu.
Eyaliko ssentebe w’akabondo k’ababaka ba parliament abava mu Buganda Johnson Muyanja Ssenyonga, yebazizza radio ya cbs olwokulungamya bannauganda nga tesosoddemu bwatyo nagisaba okwongera okukuuma omutindo.
Ssennyonga awaddeyo ensimbi akakadde ka shs kamu eri ekibiina Kya Nsonga cbs fans club.
Abakozi ku CBS bazannye omupiira ogw’omukwano n’ebibiina by’abawuliriza ba CBS (CBS fans Club), mu nteekateeka y’okutumbula obumu.
Abakozi ba CBS bawangudde abawuliriza ku goolo 2 – 1.
Omukolo guno gutegekeddwa abawuliriza abegattira mu kibiina kya Nsonga fans club ekisangibwa mu ssaza Kyaggwe.
Ebibiina ebyetabye ku mukolo guno bisoose kwolesa ebitundu byebikola, omuli ebijimusa,ebirime,ssabbuuni w’amazzi, obuwunga n’ebintu ebirala bingi.
Omukwanaganya w’ebibiina bya CBS fans Club Omuk.Godfrey Male Busuulwa, yebazizza bannabibiina okutambulira awamu okutuukiriza ekiragiro ky’Omutanda eky’emu ku nsonga ssemasonga y’Obwakabaka ey’okubeera Obumu.
Ssentebe wa CBS fans Club mu ggwanga Omutaka Ssemafumu Kaggwa naye akaatiriza nti ng’oggyeko ebibiina bino okubakumakuma nti naye bibayambye n’okukyusa embeera zabwe n’okwekulakulanya.
Ssentebe yebazizza bannakibiina kya Nsonga fans Club bagambye nti balaze omutindo mu byonna byebakola.
Omukolo guno gwetabyeko ebibiina bya CBS fans club ebisobye mu 15 okuva e Kajjansi,Lugazi, Kawuku, Buwaya, Seguku, Bwaise ,Bweyogerere ne Bukasa Asante saana Nakifuma n’ebirala.