Ttiimu ya CBS ey’okubiri ey’abavubuka abomulembe omutebi, esitukidde mu mpaka z’omupiira ez’omwaka 2025, ezategekeddwa ekibiina ekitaba bannamawulire mu ggwanga ekya Uganda Journalists Association (UJA) ez’omulundi ogw’okusatu, ekubye KBS TV ggoolo 3 ku emu (3-1) ku luzanya olw’akamalirizo.
Empaka zino zeetabyemu ebitongole byamawulire okuli New vision, Bukedde TV, CBS eyabakadde naabavubuka, KBS tv, naabagenyi abayite okubadde bannamawulire abakulisitayo, Uganda Airlines nebitongole ebirala.
Bwabadde akwasa abawanguzi ekikopo kino ne sseddume w’embuzi, akulira akakiiko akalwanyisa obulyi bw’enguzi mu maka g’omukulembeze w’eggwanga, Brig. Gen Moses Lukyamuzi, asabye bannamawulire okukwatirako government okulwanyisa obulyi bw’enguzi, n’ekibba ttaka.
Avumiridde ebikolwa byabo abatulugunya bannamawulire sso nga baba bakola mulimu gwabwe.
Abadde omuduumizi wa tiimu empanguzi, omusomi era omusasi waamawulire ku mukutu ogwa 89.2, David Kiyengo, atenderezza empaka zino nti zibongedde okusitula omutindo gw’abazannyi.
Jackie Makamukumi, omwogezi wa Uganda National Lotteries and Gaming Regulatory Authority, nga yakiikiridde akulira ekitongole kino, Denis Mudene asanyukidde ensisinkano ezitabye bannamawulire neebitongole gyebasaka amawulire okubaleeta awamu okuvuganya mu mizannyo.
Empaka zino zaategekeddwa ng’ebimu ku bijaguzo by’okwefumintiriza n’okukuza olunaku lw’eddembe lya bannamawulire mu ggwanga.
President w’ekibiina ekibata bannamawulire ekya Uganda Journalists Association (UJA), ekyategese empaka zino, Mathias Rukundo, agambye nti okujaguza kugendereddemu kuzza bumu mu bannamawulire.
Bisakiddwa: Ddungu Davis