Bannamukisa babiri bakwasiddwa obukadde bwa shs 7 buli omu, zebaawangula mu kazannyo ka Sabula Bingo akaweerezebaa mu ppulogulaamu za CBS ez’enjawulo.
Ababiri bano baawangula mu biseera by’okujaguza Amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka ag’emyaka 70, mu kazannyo akaatuumwa; Sabula Bingo ku Mazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka 70 mu 70.
Nabawanuka Aisha ne Herman Kyeyune bebakwasiddwa ensimbi zabwe ku office za CBS ku Masengere e Mengo.
Ssenkulu wa radio CBS omukungu Michael Kawooya Mwebe bw’abadde abakwasa ensimbi zino, agambye nti Omutanda bweyali abakwasa radio eno ezimu ku nsonga enkulu kwali kukulemberamu kawefube w’okuggya abantu be mu mbeera etali nnungi era gyebasinga okutembeeta.
Omuk.Kawooya Mwebe yeebazizza Ssabasajja Kabaka olw’okubeera maaso moogi, era nakakasa nti radio cbs yakusigala ng’ekola ebyo ebisitula embeera z’abantu ba Kabaka nga bweyabalagira.
Herman Kyeyune omutuuze we Masaka Nyendo mu Buddu nga mukugu mukuwayalinga mmotoka agambye nti wawangulidde ensimbi zino, ng’abadde yakazanya Sabula Bingo emirundi 7.
Nabawanuka Aisha mutuuze wa Kirinnya Namataba nga akola mukirabo kya mmere wawangulidde agambye abadde yakazanya akazanyo ka Sabula Bingo omulungi gumu gwoka, era naye ategezeza nti bweyafuna obubaka nti awangudde esanyu lyabula okumutta.
Akulira ebifulumira ku mpewo za Radio CBS Hajji Abbey Mukiibi Nkaaga yebazizza olukiiko olufuzi olwa CBS olw’okukkiriza akazannyo kano kagambye nti kaggyayo bulungi ebigendererwa by’okuddiza abawuliriza ba CBS.
Abawuliriza CBS bannamukisa abalala bazze bawangula ensimbi buli akazannyio kano buli lwekazannyibwa ku ppulogulaamu ezenjawulo, nga bakozesa essimu zabwe.