Ekibiina ekiddukanya omupiira ku semazinga Africa ekya CAF, kizzeemu okutalaaga Kenya, Tanzania ne Uganda mu kwekenenya okusembayo okwekenneenya amawanga gonsatule bwegetegese, okutegeka empaka za African Nations Championships CHAN ez’omwaka guno 2025.
CAF ebadde yakalambula ensi zino emirundi 2 omwali n’omukulembeze wa CAF, Dr Patrice Motsepe okusitukiramu, era yasisinkana abakulembeze b’amawanga gano okutema empenda z’okutegeka empaka ez’ekitiibwa.
Kakaano abakungu ba CAF abali mu kulambula okusembayo era batandikidde Kenya, enkya ku lw’okuuna ne lw’okutaano bajja kugenda e Tanzania ate ku lw’omukaaga ne Sunday eno nga 12 January,2025 bajja kulambula Uganda.
Mu kulambula kuno okusembayo abakulu betegereza embeera z’ebisaawe ebigenda okuzanyirwamu emipiira, ebisaawe ebigenda okutendekerwamu ttiimu zino, ebisulo, ebisaawe by’ennyonyi, enguudo n’ebirala.
Empaka za CHAN zigenda kubeerawo okuva nga 01 okutuuka nga 28 omwezi ogujja ogwa February, 2025 mu Uganda, Kenya ne Tanzania, era empaka zino zigenda kutegekebwa amawanga gano asatu omulundi ogusookedde ddala.
Empaka za CHAN zetabwamu abazannyi bokka abazannyira mu mawanga gabwe, era omutendesi wa Uganda Cranes Paul Joseph Put, naye agenda okulangirira ttiimu egenda okukiikirira Uganda mu mpaka zino.
Uganda, Kenya ne Tanzania baalondebwa okutegeka empaka za CHAN ng’olupimo lwazo werutuuse mu kwetegekera empaka za Africa Cup of Nations ez’omwaka 2027.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe