Ekibiina ekiddukanya omupiira ku ssemazinga Africa ekya CAF kiwadde ebibonerezo ebikakali eri ttiimu ya Senegal, Morocco, abazannyi n’abatendesi, olw’ebikolwa ebyefujjo ebyaliwo ku mupiira ogwakamalirizo ogw’empaka za Africa Cup of Nations eza 2025 ezabadde e Morocco
Omupiira guno Senegal yaguwangula goolo 1-0 bwetyo n’esitukira mu kikopo kino.
Omupiira guno gwalimu akakyankalano oluvannyuma lw’omukommonsi wa ffirimbi okuwa Morocco peneti, Senegal negiwakanya omwava n’obugulumbo obulala bungi.
Kakaano CAF eyimiriza omutendesi wa Senegal emipiira 5 n’okusasula engasi ya mitwalo 10 egya doola, olw’okulagira abazannyi ba ttiimu ye okuva mu kisaawe.
Abazannyi ba Senegal Iliman Ndiaye ne Ismael Sarr bakaligiddwa emipiira 2 buli omu.
Ekibiina ekiddukanya omupiira e Senegal kikubiddwa engasi ya mitwalo gya doola 615,000.
Ku ludda lwa Morocco, omuzannyi Achraf Hakim akaligiddwa emipiira 2, ate omuzannyi Ismael Saibari akaligiddwa emipiira 3 n’engasi ya nsimbi za doola emitwalo 10.
Ekibiina ekiddukanya omupiira e Morocco nakyo kikaligiddwa engasi ya nsimbi za doola 200,000, olw’enneyisa yaba ball boys etaali nnungi ku kisaawe.
CAF era egobye n’okujulira kwa Morocco kwe yabadde etutteyo nga yabadde eyagala ekikopo kiggyibwe ku Senegal kigiweebwe, olw’okuba ng’abazannyi ba Senegal baali bazize omupiira ate oluvannyuma nebakomawo mu kisaawe era negugenda mu maaso Senegal neguwangula ku goolo 1 -0.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe













