Obululu bw’empaka za club ensajja my Africa eza CAF Champions league obw’omutendera gwa quarterfinal bukwatiddwa ku kitebe kya CAF mu kibuga Cairo e Misiri.
Club ya Simba eya Tanzania egudde ku Wydad Casablanca eya Morocco eyawangula empaka ezasembayo.
Al Ahly eya Misiri era nga yekyasinze okuwangula empaka zino emirundi emingi, akalulu kagisudde ku Raja Casablanca eya Morocco.
JS Kabylie eya Algeria egenda kuttunka ne Esperance eya Tunisia, ate CR Belouizdad eya Algeria egenda kuttunka ne Mamerodi Sundowns eya South Africa, omuzannyira munnayuganda Dennis Masinde Onyango.
Emipiira ku mutendera guno egy’oluzannya olusooka gigenda kuzanyibwa nga 21 ne 22 omwezi guno ogwa April olwo ziddingane oluvannyuma lwa wiiki emu.
Mu ngeri yeemu obululu bw’empaka za CAF Confederations Cup obwa quarterfinals nabwo bukwatiddwa nga club ya Young Africans eya Tanzania omuzannyira munnayuganda Khalid Aucho akalulu kagisudde ku Rivers United eya Nigeria.
Pyramids eya Misiri egenda kuttunka ne Marumo Gallants eya South Africa, US Monastir eya Tunisia egenda kuttunka ne Asec Mimosas eya Ivory Coast, ate USM Alger egenda kuttunka ne As Rabat eya Morocco.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe