Obwakabaka bwa Buganda bukubyekubye ku babaka ba parliament naddala abava mu Buganda okulwana amasajja okulaba nti ebyambalo okuli ggomesi ne Kanzu birekebwa ku lukalala lw’engoye ezikkirizibwa okwambalwa mu parliament ya Uganda.
Parliament ng’eyita mu kakiiko kaayo akakwaasisa empisa, eyagala okuluηamya engoye ezambalibwa ababaka ba parliament olw’omutindo gw’okwambala ogubadde guseebengeredde nga buli mubaka kyasanze kyayambala.
Mu alipoota eyakoleddwa akakiiko, kagala parliament ewere engoye okuli Gomesi, amakanzu, ebitengi, ebyambalo by’amagye n’ebirala, essuuti zokka zeziba zikkirizibwa.
Omukubiriza wolukiiko lw’abataka era omukulu w’ekika kyekkobe Omutaka Nnamwaama Augustine Kizito Mutumba agambye nti kyekiseera parliament ya Uganda yeyise nga eya Uganda sso SSI nga eya Bungereza.
Jjajja Namwaama agambye nti ababaka basaanye bakkirizibwe okwambala engoye ezigyayo ebitundu n’obuwangwa gyebava, olwo Uganda lweggya okuggumira sso SSI kukkopa byabazungu abafuzi bamatwale.
Owek Israel Kazibwe Kitooke minister wamawulire, omwogezi w’obwakabaka era avunanyizibwa kukunga abantu ba Kabaka awabudde parliament esigale ku nnono zabannansi ebyokwezunguwaza ebiveeko.
Parlament esuubirwa sabiiti Eno okukubaganya ebirowoozo ku nnongosereza ezirambika ku birina okwambalibwa mu parliament.#