Essomero lya Buddo SS be bannantamegwa b’empaka z’omupiira ogw’ebigere eza masomero ga senior mu Uganda yonna (Uganda Secondary School Sports Association Championship) oluvanyuma lw’okumegga St Mary’s Kitende b ku goolo 6-5 ezibadde ez’okusimulagana peneti, oluvanyuma olwokulemagana 0-0 mu dakiika ezessalira.
Empaka zino zibadde ziyindira ku ssomero lya Ngora High School, era Buddo SS empaka zino eziwangudde omulundi ogw’okusatu.
Minister omubeezi ow’ebyemizannyo Peter Ogwanga, yakwasizza abawanguzi ekikopo n’emidaali oluvanyuma lw’omupiira wakati wa ttiimu zombiriri ogubaddeko n’okuluma obugigi.

Buddo SS empaka zino yasooka kuziwangula mu 2009, 2018 kakaano ne 2025, era Buddo yesasuzza Kitende, kuba ebadde yagikuba goolo 2-0 ku mutendera gwa Zone ya Wakiso.
Empaka zino zetabiddwamu amasomero 64, nga Buddo SS yewangudde zaabu, St Mary’s Kitende n’ewangula emidaali egya feeza ate nga Bukedea Comprehensive School yekutte ekifo eky’okusatu newangula emidaali egy’ekikomo.
Owen Mukisa owa Buddo SS yalondeddwa nga omuzannyi asinze okucanga endiba mu mpaka zino.
Kibuli SS ne St Mary’s Kitende be bakyasinze okuwangula ekikopo kino emirundi emingi 11 buli omu.
Amasomero okuli Buddo SS, St Mary’s Kitende, Bukedea Comprehensive School ne Amus College School be bagenda okukiikirira Uganda mu mpaka za East Africa ezigenda okubeera e Kakamega Kenya omwaka guno.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe
Amasomero agazze gawangula USSSA mu mpaka z’omupiira ogw’ebigere ogw’abalenzi okuva mu 1986
• 2024: St Julian High Mukono
• 2023:St Mary’s SS Kitende
• 2022: St Mary’s SS Kitende
• 2019: St Mary’s SS Kitende
• 2018: Buddo SS
• 2017: Jinja SS
• 2016: Kibuli SS
• 2015: St Mary’s SS Kitende
• 2014: Kibuli SS
• 2013: St Mary’s SS Kitende
• 2012: St Mary’s SS Kitende
• 2011: St Mary’s SS Kitende
• 2010: Bishop Nankyama
• 2009: Buddo SS
• 2008: St Mary’s Kitende
• 2007: St Mary’s SS Kitende
• 2006: St Mary’s SS Kitende
• 2005: Kibuli SS
• 2004: St Mary’s SS Kitende
• 2003: Old Kampala
• 2002: Nagalama Islamic
• 2001: Ngabo Academy
• 2000: Kibuli SS
• 1999: Old Kampala
• 1998: Kibuli SS
• 1997: St Leo’s Kyegobe
• 1996: Kibuli SS
• 1995: Kibuli SS
• 1994: Lubiri SS
• 1993: Kibuli SS
• 1992: Kibuli SS
• 1991: Kibuli SS
• 1990: Kololo SS
• 1989: Kibuli SS
• 1988: Kololo SS
• 1987: Kololo SS
• 1986: Kololo SS