Abadde amyuka omuduumizi w’eggye lya UPDF eryomubbanga Brig.Gen Stephen Kiggundu asangiddwa afiiridde mu kinaabiro ng’anaaba.
Omwogezi wa UPDF Brig.Gen.Felix Kulaigye ategeezezza nti munamagye Stephen Kigundu afiiridde mu maka ge Entebbe e kiro, era nga batandise okunoonyereza ekimuviiriddeko okufa
Kulaigye agambye nti UPDF efiiridde omusirikale abadde owenjawulo mu buweereza bwe, era abalekedde eddibu ddene, wabula bebazza katonda olwo bulamu bwamuwadde.
Bring Gen Stephen Kigundu yoomu kubajjasi abaasooka okuwungula ennyonyi mu bbanga era abadde n’obumanyirivu bw’amaanyi.
Munamagye ono yakulirako ettendekero lya UPDF eryo mubbanga erya Soroti Air Force, era yakuzibwa okutuuka ku ddala lya Brigadier General mu mwaka 2022.
Kinajjukirwa nti mu mwaka gwa 2020 UPDF era yafiirwa omusirikale omulala ku ddaala lya Brig.Gen.Victor Twesigye naye yaseerera naagwa mu kinaabiro. #