Omudduumizi w’eggye ly’eggwanga era mutabani w’omukulembeze w’eggwanga General Muhoozi Kainerugaba alonze munnamaggye Brigadier General Jackson Pande Kajuba okubeera omudduumizi w’eggye ly’a armoured brigade eririna ekitebe kyalyo e Kasijjagirwa mu Kibuga Masaka.
Brigadier General Jackson Pande Kajuba azze mu bigere bya Brig.General Deus Sande eyafudde ekibwatukira.
Brig.General Pande Jackson Kajuba yaabadde amyuka Brig General Deus Sande nga babadde badduumira eggye lya armoured brigade erye Kasijjagirwa nga lyerivunaanyizibwa ku tanka ennywanyi.
Omudduumizi w’eggye lyleggwanga Gen.muhoozi Kainerugaba era mu mbeera yeemu, akuzizza munnamaggye w’eggye erikuuma omukulembeze w’eggwanga erya SFC Wilson Bagonza, okuva ku ddaala lya Colonel okutuuka ku ddaala lya Brig General, era amulonze okubeera omumyuka w’omuduumizi w’eggye lya armored brigade nga yaagenda okumyuka Brig.Gen. Jackson Pande Kajuba.
Akolanga omwogezi w’amaggye Col.Chris magezi agambye nti abalondebwa batandiikiddewo emirimu gyabwe egibaweereddwa.
Omugenzi Brig. Gen. Deus Sande omugenzi eyabadde omumyuka wenkambi yamaggye ga armoured brigade e Kasijjagirwa, yafiiridde mu bitundu by’e Mpigi,bweyabadde ali ku lugendo olumutuusa mu kibuga Kampala nga kigambibwa nti yalamereddwa okussa.
Eggye ly’eggwanga lifiiriddwa bannamaggye babiri abali ku maddaala agawaggulu okuli Maj. Gen. Francis Takirwa eyabadde amyuka omudduumizi w’amaggye agokuttaka ne Brig.Gen. Deus Sande abadde omudduumizi w’enkambi ye Kasijjagirwa eya armored brigade.













