Eyaliko Omulabirizi w’e Mukono Bishop Michael Solomon Ndawula Ssenyimba avudde mu bulamu bw’ensi ku myaka 96 egy’obukulu.
Yazaalibwa nga 02 July,1927 naafa nga 19 March,2024.
Bishop Ssenyimba yeyali omulabirizi w’e Mukono owokubiri, nga yasumba obulabirizi obwo okuva mu 1995 okutuuka mu 2002 lweyawummula.
Yadda mu bigere bya Mpalanyi Nkoyooyo ng’omulabirizi we Mukono.
Yaliko Vice Chancellor wa Ndejje University.
Bishop Ssenyimba aweerezza emirimu embuga egiwerako, abadde memba ku boodi y’ekitongole kya Kabaka Foundation, era ng’abaddre omu ku bali ku mulimu gw’okulondoola enteekateeka y’okuddaabiriza n’okukulaakulanya amasiro ge Wamala.#