Wabaluseewo okusika omugwa wakati wa basentebe be byalo mu Municipality ye Makindye Ssabagabo, olw’abakulira Municipality eno okuyisa ekiragiro eri ba Sentebe bonna okuzaayo Stamp z’e byalo zebabadde bakozesa so ng’ekisanja kyabwe tekinaggwako.
Olukiiko olukulembera Municipality ye Makindye Ssabagabo mu District ye Wakiso nga lukulembeddwa Mayor we kitundu kino Salongo Godfrey Ssemwanga Kabuzi, lwalagidde ba Sentebe ku byalo byonna ebikolwa ekitundu kino mu bwangu okuzzayo Stamp zonna ezabaweebwa nti kubanga mu kiseera kino tebakyalina mulimu gwebayinza kukolera byalo mu mateeka,nga ekisanja kyabwe kyaweddeko kati ennaku ssatu eziyise.
Abamu ku basentebe ku byalo eby’enjawulo bakalambidde obutazza Stamp zino okutuusa nga bafunye okulambikibwa okuva mu ministry ya government ezébitundu.
Omuteesitesi omukulu mu ministry ya government z’e bitundu Benjamin Kumumanya alambise ku nsonga eno, n’agamba nti Ministry gyakulembera yokka yerina obuyinza okujja stamp mu bitundu gyezaatwalibwa.
Okusika omugwa kuno kuzeewo oluvannyuma lw’ekisanja kya ba ssentebe b’ebyalo eky’emyaka 5 okugwako nga 10 July,2023.
Wabula government netegeeza nti terina sente zitegeka kulonda balala, era n’esuubiza okubagawo enkola esobola okuyisibwa mu mateeka okunaanula ekisanja ba ssentebe abaliko bagire nga bakyaweereza ebyalo byabwe.
Bisakiddwa: Ssebuliba William