Muzzukulu wa Mugema Basajjamivule John ye Muziramubazira wa CBS 2025.
Ssaabasajja asiimye n’amwambaza ekyambalo ky’ekitiibwa kye eky’Omuzira mu Bazira, n’amukwasa n’ekyapa ky’ettaka wamu ne Cheque ya nsimbi obukadde butaano.

Abimukwasirizza mu Nkuuka Bwaguuga 2025, etegekeddwa CBS Fm ng’eyambibwako MTN.
Ssali Damascus omu Ku bateesiteesi ba Program Entanda ya Buganda yalangiridde Basajjamivule John ku buwanguzi buno oluvanyuma lw`okuwangula bazira banne bwebabadde mu lwokaano.
Munnakyadondo Basajjamivule John eyeddira Enkima adiriddwa Munnabutambala Ssewanyana Mathew eyeddira Ensenene akutte eky`okubiri, Munnakyaddondo Nsobya George eyeddira Effumbe akutte kyakusatu, Munnakyaddondo Mukooza Julius eyeddira Ente akutte kyakuna.
Munnamawokota Nanyunja Hasifah eyeddira Enkima omukyala yekka atuuse ku kamaliriizo akutte kyakutaano, ate Munnakyaggwe Ntogyo David eyeddira Entalanganya akutte Kyamukaaga.
Munnauganda Busuulwa Joseph eyeddira Ekkobe awangaalira mu Kuwait ye Muzira mu Bazira wa Ntanda Diaspora eyetabibwamu Bannauganda abawangaaliia ebweru wa Uganda.#












