Amakolero amatonotono agasoba mu 30 gaggaddewo nti okuva government lweyatandiika okussa mu nkola enkola y’okulondoola eby’amaguzi ebissibwako stamps endigito emanyiddwanga digital stamps.
Gyebuvuddeko, government ng’eyita mu kitongole ekiwooza ky’omusolo ki URA,yawa kontulakita eri kampuni ya SICPA Uganda ,okussa stamps endigito mu kampuni ezikola ebyamaguzi, nekigendererwa ekyokulondoola omuwendo gwebyamaguzi ,kisobozese government okugerekera kampuni ezo omusolo nga esinziira ku by’amaguzi ebikolebwa.
Ekitongole ki URA, kyalagira amakolero gonna agakola eby’amaguzi okwesasulira stamps endigito.
Wabula alipoota ekoleddwa ekitongole ki Private sector foundation Uganda, eyavudde mu kwekeneenya engeri kampuni gyegiteekeseza mu nkola enkola ya stamps endigito zino.
Alipoota eraze nti enkola Eno enyigiriza nnyo kampuni zino era okuva lwezaatandiika okuteekebwa mu nkola, kampuni zakuno ezisoba mu 30 zezakaggalawo olwokunyigirizibwa.
Alipoota ya private sector foundation Uganda, etwaliddwa eri parliament mu kakiiko akalondoola eby’ensimbi nenkulakulana y’eggwanga eraze nti stamps endigito zino ebisale byazo biri waggulu nnyo bwezigerageranyizibwa ku mawanga amalala mu East Africa okuli Uganda, Kenya, Tanzania ne Rwanda
Ekitongole ki private sector foundation Uganda ,kigamba nti stamps endigito okubeera ez’ebbeeyi, kyongera akazito ku kampuni okutambuza emirimu nga kyekiviiriddeko kampuni ezisoba mu 30 okuggalawo
Dr Julius Byaruhanga director mu private sector foundation Uganda ,asabye government eddemu yetegereze ebisale bya stamps zino endigito, nekigendererwa eky’okubikendezaako okutaasa kampuni ezoolekedde okuggalawo olwakazito akaziteereddwako.#