Government erangiridde nti bannauganda bongedde okweterekera ensimbi z’obukadde, zebaterese omwaka guno 2024 zirinye n’ebitundu 18%, bwogerageranya neezo ezaterekebwa omwaka gwa 2023.
Alipoota y`omwaka guno efulumiziddwa Ekitongole kya government ekirungamya ebitongole ebiterekera bannauganda ensimbi z`Obukadde, ekya Uganda Retirements Benefits Regulatory Authority URBRA, eraze nti ensimbi zino zirinnye okuva ku 22.4 trillion ezaaterekebwa mu 2023, okutuuka ku Trillion 25.40 eziterekeddwa mu 2024.
Ekitongole kinno era kigamba nti ensimbi zino ziyambeko n`okulinnyisa ebyenfuna by’eggwanga, okuva ku bitundu 10% okudda ku bitundu 12.2 %.
Ritah Faith Nansasi akola nga Ssenkulu wa Uganda Retirements Benefits Regulatory Authority URBRA, asinzidde ku media centre nategeeza nti bannauganda bongedde amaanyi mukuterekera obukadde bwabwe.
Minister w’ebyensimbi n`okutekeeratekeera eggwanga Matia Kasaija, asinzidde wano nawanjagira bannaUganda abatanajjumbira okwongera okuterekera obukadde bwabwe, nti kubanga obukadde obutalimu nsimbi bumenya nnyo.
Bisakiddwa: Musisi John