Ministry y’ebyobulamu mu Uganda erabudde banna Uganda n’abasawo abakola mu malwaliro agenjawulo okwongera okuba obulindaala ku kirwadde kya Marburg, ekyakakasiddwa nti kyabaluseewo mu mawanga ga East Africa agamu agaliraanye Uganda.
Ministry y’ebyobulamu egamba nti obulwadde buno waadde tebunaba kujja Uganda, bwazuliddwa mu ggwanga eriri ku muliraano erye Rwanda era bwakatta abantu 6 mu wiiki emu yokka, abalala 26 bali mu malwaliro baawuliddwa, so nga 161 bateeberezebwa okubeera nabwo era bakyalondoolwa ab’ebyobulamu.
Marburg bulwadde bwa musujja ogukwata abantu nga guva ku bisolo by’omunsiko oba obuwundo kyokka nga ssinga omuntu bumukwata abeera n’ebitundu 88% okufa ssinga tafuna bujjanjabi bwamangu.
Obulwadde buno obuboneeo bwabwo bweefananyirizaako ekirwadde kya Ebola, ng’omuntu atandika okuvaamu omusaayi, omusujja ogw’olutentezi, okubobbebwa omutwe, nebirala.
Wano mu Uganda Dr. Daniel Kyabayinze, director akulira ebyobujjanjabi ebitali bya mu ddwaliro, alabudde abasawo naabantu mu district eziriraanye Rwanda naamawanga amalala gyebuzuuliddwa okuba abeegendereza ku bantu abajja n’obubonero buno mu malwaliro.
Mu kiseera kino Uganda ekyattunka n’ekirwadde ki Mpox era abantu abasoba mu 20 bebakazuulibwamu ekirwadde ekyo.
Wano mu Uganda obulwadde bwa Marburg bwali bubaluseewo kko era mu mwaka gwa 2007, abantu 4 bebazulibwamu ekirwadde mu district ye Ibanda era 2 baafa.
Mu 2008, abantu 2 abaali bava mu Uganda nga baddayo ewaabwe ku butaka okwali owe Netherlands n’omumerica, baazulibwamu ekirwadde kino nga batuuse ewaabwe, era nekirangirirwa nti Uganda yalimu ekirwadde kya Marburg.
Mu 2012 abantu 15 bebaazulibwa era 4 baafa mu district ye Ibanda ne Kabaale mu bugwanjuba bwa Uganda, ssonga ne mu 2014 lwebwasemba waliwo omuntu omu eyazulibwamu obulwadde buno mu district ye Mpigi ngoono yali musawo.
Murburg abadde yasembayo okulabikako mu Uganda mu mwaka gwa 2015.
Bisakiddwa: Ddungu Davis