Abavunaaniddwa kuliko Tasi Calvin amanyiddwa ngq Bobi Giant, Serunkuuma Edwin amanyiddwa nga Eddie King Kabenja, Lukenge Sharif , Nyanzi Yasin ne Kaweesi Tonny.
Bano abataano bagattiddwa ku Edward Sebuufu amanyiddwa nga Eddie Mutwe ne Achileo Kivumbi abaasooka okukwatibwa era nga bavunaanibwa emisango gye gimu.
Eddie Mutwe ne Achileo Kivumbi nabo baleeteddwa mu kooti wakati mu bukuumi obw’amaanyi, tebakkiriza wadde ab’oluganda lwabwe okubalabako.
Abavunaanibwa emisango egibasomeddwa egy’okwekobaana nebenyigira mu dduyiro w’ekinnamagye mu ngeri emenya amateeka, gyonna bagyegaanye.
Oludda oluwaabi lusabye kooti eruweeyo omwezi mulamba okuleeta obujulizi obubaluma.
Omulamuzi Damalie asazeewo okugwongerayo okutuusa nga 29 September, 2025.
Bisakiddwa: Betty Zziwa