Sipiika wa parliament Anitah Annet Among alangidde ba minister n’ababaka ba parliament olw’okwebulankanya mu ntuula za parliament, agambye nti buno bulyi bwa nguzi bwennyini.
Sipiika agambye nti ba minister bano n’ababaka basasulwa ensimbi z’omuwi w’omusolo, nga n’olwekyo buba bulyi bwa nguzi obutayagala kuzikolerera.
Sipiika Among bw’abadde aggulawo olutuula lwa parliament, minister omu yekka yalabiseeko (David Bahati) ku ba minister 83.
Ate ababaka ba parliament abali 556, ababaddewo tebaweze wadde 100.
“Tusasulwa ensimbi z’omuwi w’omusolo nnyingi nnyo, kiba kikyamu ba minister n’abakaka ba parliament okuba nga buli kadde mutuuka kikeerezi n’abalala obutajjira ddala mu ntuula za parliament. Buno bulyi bwa nguzi bwennyini obusaanye bukomezebwe” speaker Anitah Annet Among
Embeera eno ezingamizza emirimu egiwerako, nga nekikyali mu ddiiro ge mateeka agaayisibwa parliament agazze gasazibwamu, olw’omuwendo gw’ababaka ogwessalira abaagayisa okuba nti gwali teguwera.
Amateeka agakasembayo okusazibwamu mu mbeera eno, lye tteeka erirwanyisa ebisiyaga n’etteeka erikwata kukulwanyisa ebiragalalagala.#