Ba minister abaggya abatali babaka ba parliament bakubye ebirayiro byabwe ebibakkiriza okutuula mu parliament mu butongole, nebawera okukuuma ssemateeka w’eggwanga n’okukola ku nsonga eziruma abantu babulijjo.
Abakubye ebirayiro kuliko minister omubeezi ow’ensonga z’abavubuka n’abaana Balaam Barugahare ne minister omubeezi ow’ensonga z’obukiika kkono bwa Uganda Dr. Keneth Omona.
Waliwo n’ababaka abakubye ebirayiro okuli eyawangula akalulu k’okujjuza ekifo ky’omubaka omukyala akiikirira district ye Dokolo, Muna UPC Sarah Aguti ne Ocwa David eyazze mu kifo ky’omubaka wa Agule County Oluvanyuma lwa kooti okukizuula nti Omubaka abadde akiikirira ekitundu kino Polycup Ogwari abadde talina bisaanyizo bimala ebimufuula okubeera Omubaka wa parliament omujjuvu.
Omumyuka wa Sipiika wa parliament Thomas Tayebwa Bangirana abakuutidde okukuuma ssemateeka w’eggwanga n’okugoberera amateeka agafuga entuula za Parliament nasaba abakulira ababaka bano abaggya okubayambako okwongera okubasomesa engeri parliament gyekolamu emirimu.#