President wa United States of America Donald Trump agambye nti Omukulembeze wa Iran supreme Leader Ayatollah Ali Khamenei ow’emyaka 86 attiddwa mu bulumbaganyi obukoleddwa USA ne Israel ku ggwanga lya Iran ku Saturday nga 28 February,2026.
Donald Trump atadde obubaka ku kibanja kye eky’omutimbagano, nategeeza Ali Khamenei abadde musajja muzibu nnyo, nagamba nti kye kiseera abantu ba Iran okwezza obwannanyini bw’eggwanga lyabwe.
Agambye nti Ali Khamenei abadde afuuse omulabe w’emirembe eri amawanga ga Buwalabu n’ensi yonna okutwaliza awamu.

Obulumbaganyi buno obubaddemu okukuba ebikompola ku Iran bufiiriddemu abantu ba bulijjo bangi, omuli n’abaana b’amasomero.
Eby’entambula nabyo bisannyaladde okwetoloola amawanga ga Buwalabu, n’embuuka z’ennyonyi ku bisaawe byonna ebya Middle East ziyimiriziddwa.
Amawanga mangi gafulumizza obubaka obulagira abantu baago okubeera obulindaala, okwerinda embeera yonna ey’akatyabaga eyolekedde ekitundu kya Middle East.
Amagye ga Iran nago geesomye okulumba ebitebe by’amagye ga USA mu mawanga ga Buwalabu.
Ssaabawandiisi w’ekibiina ky’amawanga amagatte Antonio Guterres avumiridde obulumbaganyi obukoleddwa USA ne Israel ku Iran, nategeeza nti eryanyi terisobola kuleeta mirembe.
Alagidde amawanga agatanudde olutalo luno okulukomya, okutaasa abantu abalala abayinza okulufiiramu.












