Abawagizi ba club ya Arsenal eya Bungereza bakyaabinuka masejjere, olw’obuwanguzi bwe batuseeko mu kiro ekikeseza olwaleero, bwebakubye Real Madrid eya Spain goolo 3-0 mu mupiira ogubaddeko n’obugombe.
Omupiira guno gubadde gwa mutendera ogw’oluzannya olusooka ku quarterfinal mu mpaka za UEFA Champions League, nga guzannyidwa mu kisaawe kya Arsenal ekya Emirates.
Goolo eziwadde Arsenal obuwanguzi zitebeddwa omuzannyi Decline Rice atebyeko goolo 2 zonna ezibdde ez’okusimula ebisobyo, ne Mikel Merino natebako goolo 1.
Omupiira guno Arsenal egwefuze ebitundu 54% ate Madrid ebitundu 46%.
Madrid egumazeko nabazannyi 10 oluvanyuma lwa Eduardo Camavinga okufuna kaadi emyufu.
Arsenal ebadde n’ebizungirizi ebigenze mu mimwa gya goolo 11, ate Madrid 3 byokka.
Ttiimu zino zigend kuddingana nga 16 April e Spain.
Omupiira omulala oguzanyiddwa, Inter Milan eya Italy erumbye Bayern Munich eya Germany omwayo n’egikubirayo goolo 2-1.
Emipiira egigenda okuzannyibwa olwaleero, Barcelona eya Spain egenda kuttunka ne Borrussia Dortmund eya Germany ate nga PSG eya Bufalansa egenda kuzuzumba ne Aston Villa eya Bungereza.#
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe