Amyuka sipiika wa parliament Thomas Tayebwa agambye nti ky’ekiseera Police n’ekitongole ky’amakomera bifune ababaka ababikiikirira mu parliament, nga bwekiri ku magye.
Thomas Tayebwa bw’abadde aggulawo olutuula lwa parliament, anokoddeyo munnamagye wa military police eyakkakanye ku musirikale wa police y’ebidduka namuppakya empi n’okumusikasikanya.
Tayebwa agambye nti ebikolwa nga bino byoleka ekifanaanyi ekibi eri eggwanga, n’okwoleka obuziina obuli mu byokwerinda bya Uganda.
Ku bitongole byebyokwerinda byonna ebiri mu ggwanga, ekitongole kyamagye kyokka kyekirina abakiise mu parliament bali 10.
Tayebwa agambye nti ensonga eziruma abasirikale ba police ng’ez’okukubibwa amaggye zandibadde zanjulwa mu parliament, wabula tebalina abakiikirira naagamba nti ensonga ezo, bagenda kuzanjula eri omukulembeze w’eggwanga azisalire amagezi.
Amyuka omuduumizi w’amagye Lt Gen Peter Elweru ku lw’amagye yetondedde ekitongole kya police olweneeyisa yabajaasi , naagamba nti eneeyisa yabannamagye abo nkyamu nyo
Elweru agambye nti omujaasi Derick Tumwiine eyakubye omusirikale wa police empi,yakwatiddwa era agenda kuvunaanibwa.