Government ya America etadde envumbo nennatti ku basirikale ba police ya Uganda abalala 4, berumiriza okwenyigira mu bikolwa eby’okulinyirira eddembe ly’obuntu
Kuliko Bob Kagarura eyaali omudduumizi wa Police y’ebendobendo lya Wamala ,Alex Mwiine eyali omuddumizi wa Police e Mityana, ne Elly Wamanya eyali commissioner wa Police avunanyizibwa ku kunonyereza ku buzzi bw’emisango ku kitebe kya bambega ba Police e Kireka ekya SIU
Omulala ye Hamdani Twesigye naye eyali akolera ku kitebe kya police ekyabambega e Kireka
Bano n’aboluganda lwabwe okusinziira ku nvumbo ezibatereddwako government ya America tebakkirizibwa kulinnya kigere mu America.
Mathew Miller omwogezi wa ministry ya America ey’ensonga zamawanga amalala yalangiridde envumbo ku banene bano mu police ya Uganda
Okusinziira ku government ya America, abasirikale ba police bano abatereddwakp envumbo beenyigira mu bikolwa ebirinyirira eddembe ly’obuntu, era obujjulizi obwenkukunala bwakungaanyizibwa ebitongole ebirwanirizi by’eddembe ly’obuntu, bannamawulire n’ebirala
Abasirikale ba Police bano abatereddwako envumbo begase ku bakulu abalala mu bitongole bya Uganda eby’ebyokwerinda abazze bateekebwako envumbo okuli abakyaawereza naabo abanyuka obuweereza
Kuliko eyali Ssaabaduumozi wa Police Kale Kayihura eyawumula, Lt Gen Peter Erweru eyali omumyuka w’omudduumizi w’amaggye g’eggwanga , Abel Kandiho eyali akulembera ekitongole Kyamaggye ekya CIM nga Kati director mu police, saako ssenkulu w’ekitongole kyamakomera Jonhson Byabashaija.