Ministry y’ebyobulamu eragidde abakulembeze mu government ez’ebitundu n’abasawo mu malwaliro gomubyalo okwongera okujikwasizaako mu kulwanyisa ekirwadde ky’akafuba, ekyeyongera mu ggwanga buli lukya n’okutaasa ekifaananyi kya Uganda.
Waliwo alipoota eyafulumye eraga nti Uganda yeemu ku mawanga 30 munsi yonna, agakyasinzeemu ekizibu kyakafuba, nga buli lunaku Uganda efiirwa abantu 30, olw’ekirwadde kyakafuba.
Ebiwandiiko biraga nti abantu emitwalo 94,000 bebakwatibwa akawuka akaleeta akafuba mu Uganda buli mwaka, ssonga bangi bwebateekebwa ku ddagala tebamalaayo ddoozi.
Bwabadde ayogerera ku mukolo ekitebe kya America mu Uganda, kwekiweredde Uganda ebimu ku byuuma ebikebera akawuka kaakafuba, minister w’ebyobulamu, Dr. Jane Ruth Aceng Ocero, ajjukizza abasawo mu malwaliro gomubyalo okufaayo okwekebejja obubonero abalwadde bwebajja nabwo, bamalewo akafuba kano ngo’omwaka 2030 tegunayita.
Dr. Daniel Kyabayinze, director avunanyizibwa ku kusomesa abantu ku byobujjanjabi ebitali byamumalwaliro mu ministry y’ebyobulamu agambye nti obuvujjirizi obuwereddwa Uganda okuva ku kitebe kya America bakubutwala mu district 70 ezimu kuzikyasinze okuvaamu ebizibu mu Uganda.
William Popp, omubaka wa America mu Uganda, agambye nti yadde obuvujjirizi okuva mu America bwasalibwa, ng’ekitebe bakukwasizaako Uganda mu bisoboka, okutaasa obulamu bwabannansi.
Dr. Henry Luzze, akulira eby’okulwanyisa akafuba neebigenge mu ministry yeebyobulamu agambye nti abantu okukololera ebbanga eddene erisukka mu wiiki bbiri, omubiri okuggwamu amaanyi bwebumu ku bunonero bwakafuba.
Akafuba mu Uganda kasiinga bendobendo lye Karamoja, West Nile ne mu buvanjuba bwa Uganda.
America ewadde Uganda obuuma obukebera akafuba 48, obyuuma ebikuba ebifaaananyi ebimanyiddwa nga X-ray machine, Pikipiki ezituuka mu masoso geebyalo, n’obuuma 33 obukuηaanyizibwamu ebikolondolwa okukebeza akafuba mu bantu.
District 70 mu Uganda okuli Arua, Moroto, Amudat, Namayingo, Namutamba ne Jinja city nendala, yewasinga ebizibu byakafuba ate naddala mu baami, abafuuweeta taaba n’okukozesa ebiragalalagala.
Bisakiddwa: Ddungu Davis