Omukulembeze wa America Donald Trump; yeewaanye n’okwenyumiriza ne yeenyumiriza; nti okutabaala Iran okutta Ayatollah Ali Khamenei omukulembeze ow’okuntikko, ky’ekirungi kyokka kye yabadde asigazza okukola okuggyawo obufuzi bw’obwanantagambwako mu Iran.
Trump ayogeddeko eri ensi yonna ng’asinziira mu maka g’obwa President aga White House mu America, okuva Amerika erumba Iran ng’ekolagana ne Israel, mu lulumba olwakankanyizza ensi yonna.
Trump akisimbyeko amannyo nti kikyali kituuza, Amerika nneetegefu okukola ebikwekweto ebirala bingi ku Iran, ga bwe yakoze ku Saturday nga 28 February,2026.
Mu kusooka; waliwo emizinga Iran gye yakasuse ku kifo ekikenenulirwamu Gas mu nsi eya Qatar; wabula government ya Qatar n’ekuba ennyonyi za Iran 2, emizinga 7 wamu n’obunyonyi 5 obw’ekika kya Drone.
Ebyo nga biri bityo; Govt ya Bungereza; eyogedde kaati nti yakikoze kagenderere okwepena okuyambako Amerika ne Israeli mu lutalo olwo.
Ssaabaminista wa Bungereza Keir Stammer; mu kwogera eri ensi agambye nti Bungereza tesanyukirangako kya kumaamulako government nga bayita mu bwengula, era ky’ekyalobedde Bungereza okwegatta ku lutalo olwo.
Ekiwandiiko ekiteekeddwako omukono omukulembeze wa Lebanon ne Ssaabaminister w’eggwanga eryo, kiraze nti ab’akabinja ka Hezbollah baamenye endagaano, bwe baakasuse ebikompola mu Israeli nga tebasoose kwebuuza ku governemnt ya Lebanon, ne bamenya endagaano Tontabaala ssirikutabaala, eyasirisa olutalo wakati wa Lebanon ne Israeli.
Ate okuvaako e Lebanon; government ya Lebanon eragidde mbagirawo abalwanyi aba Hezbollah; obutaddayo kukasuka kyakulwanyisa na kimu mu Israeli oba mu nsi endala.
Ate e Kuwait; government ya America etandise okunoonyereza ku kibagudde amagye ga Kuwait, okuwanula mu bwengula ennyonyi 2 eza Amerika ezibadde zigenda okuwandagaza ebikompola, ne bazissa ku ttaka mu ngeri ey’okwekengera.
Kitegeerekese nti ennyonyi zino zibaddemu abantu 6, era bonna bavuddemu nga tebaliiko yadde akamogo.
Okutwalira awamu; embeera Iran eyongera kutabuka buli ssaawa eyita; era agavaayo gagamba nti ebibuga ebikulu okuli Tehran ne Karaj bifuuse bifulukwa, enguudo zonna nkalu tekuli yadde ka munyeera akasala.
Agava e Iran gagamba nti ebbeeyi y’ebintu kati yeekanamye okukamala, abantu beesibidde mu nnyumba zabwe bulyomu alaajanira mutonzi we, abandi baddukidde mu byalo, nga n’empuliziganya nzibu nnyo kuba amayengo ga Internet gaggiddwako.












