Bya Issah Kimbugwe
Empaka z’okusunsulamu amawanga agagenda okukiikirira Africa mu mpaka z’ensi yonna eza FIFA World Cup ziddamu okuzanyibwa olwaleero,amawanga 10 galwanira ebifo 5 ebiwebwa Africa mu mpaka zino.
Emipiira gyonna gyaluzannya olw’okuddi𝝶ana abawanguzi bagenda kuyitamu buterevu okugenda mu kikopo kya World Cup ekigenda okuzannyibwa nga 21 November okutuuka nga 18 December e Qatar omwaka guno 2022.
Senegal egenda kuzuzumba ne Misiri nga oluzannya olwasooka Misiri yaluwangula goolo 1-0.
Nigeria egenda kuttunka ne Ghana nga oluzannya olwasooka ttiimu zonna zalemagana 0-0 era emipiira gino gya ssaawa 2 ez’ekiro kya leero.
Algeria egenda kuttunka ne Cameroon nga oluzannya olwasooka Algeria yaluwangula goolo 1-0, Tunisia egenda kuttunka ne Mali nga oluzannya olwasooka Tunisia yaluwangula goolo 1-0.
Morocco egenda kuttunka ne DR Congo ng’oluzannya olwasoose ttiimu zonna zalemaganye goolo 1-1 emipiira gino gyasaawa 4 n’ekitundu ekiro kya leero.
Nigeria, Misiri, Senegal, Morocco ne Tunisia ze zaakikirira Africa mu mpaka za World Cup ezasembayo mu 2018 e Russia.