Amateeka g'obutonde bwensi gakyuke,bannantagambwako babumalawo

Ekibira ekisanyewo olw'abatemamu emiti

Bannakyewa abalwanirira obutonde bwensi bagala gavumenti eyanguyirize ku misinde gy’okuteekesa mu nkola ennongosereza mu mateeka n’enkola ezinaagobererwa mu kutangira abatyboola obutonde bwensi naddala erikwata ku bibira.

Enkola enaalungamya ku nkozesa n'enkuuma y’ebibira emanyiddwa nga National Forest Policy, yatandaka okubagibwa mu mwaka gwa 2019, wabula n'okutuuka kaano temalirizibwanga.

Bannakyewa mu mukago ogwa Ecological Christian Organization ne Uganda Forest Working Group, bagamba nti gavumenti eteekawo kiguumaza okulaga nti efaayo ku butonde wabula nga tekoze kimala okubulwanirira.

Gaster Kiyingi, member w'ekitongole ekya Uganda Forest Working Group, asinzidde mu lukungaana lwa bannamawulire e Bukoto, naagamba nti obwanantagambwako b\wbamu ku bakungu ba gavumneti abasanyaawo ebibira okukolerawo business nabwo bukoze ky’amaanyi okutyoboola obutonde.

Anthony Walimbwa, okuva mu mukago gwa Ecological Christian Organization, agambye nti Uganda ssinga teyeddako n'okuyisa amateeka aganalungamya enkuuma y'ebibira bunnambiro, ebibira mu Uganda byakusaanyizibwawo byonna ng'omwaka 2050 tegunatuuka.

Ssenkulu w'ekitongole ekirafuubanira obutondebwensi mu nsi yonna ki World Wide Fund for Nature David Duli, agamba nti gavumenti ya Uganda nayo erina okwongera amaanyi mu kuzimba ebifo ebikola amasannyalaze g’amaanyi g’enjuba, okutaasa Uganda okufuuka eddungu olw’abantu abongedde okwokya Amanda n’ekutema enku ezifumba.

Kino kye kiseera eggwanga lyefumiitiriza ku ssabbiiti y'ebyamasannyalaze, ng’essira lissiddwa ku kuteekawo entekateeka ezenjawulo okukendeeza okutema emiti n'ebibira okwokyamu amanda, ekiteeka ebiseera bya Uganda eby’omumaaso mu katyabaga k’okufuuka eddungu.

David Duli agambye nti mu kaweefube w'okutumbula eby'amasanyalaze ebitakosa butondebwensi, basobodde okuzimba ebifo bibiri eby'amsanyalaze g'enjuba e Kasese ne mu district ye Rubirizi, nga gakozesebwa abantu abasukka mu 18,000, n'Okubezaawo business 200.

Duli asabye gavumenti eyongere ku bungi bwebifo by'amasanyalaze g'enjuba okuva ku bifo 34 okutuuka ku bifo 50 n'Omusobyo mu bbanga lya myaka ebiri okuva Kati.

Okubalirira okwakolebwa ku bibira ebyali mu Uganda byali ebitundu 26.4% mu mwaka 2018, kati bikendedde biri ebitundu 18% mu mwaka guno 2021 gwetulimu.

Alipoota ya banka y'ensi yonna ey'Omwaka 2016 yalaga nti bannayuganda ebitundu 95% bayimiriddewo ku kufumbisa nku n'amanda, olw'obutaba nabusobozi bumala kukozesa masanyalaze olw’ebbeeyi yaago eri waggulu.