Ssaabakomera wa Uganda Johnson Byabasaija ayasizza ebiragiro eri Abakulira Amakomera gonna mu Uganda, okunyweeza eby’Okwerinda wonna, era abantu sibakukkirizibwa kukyalira basibe okutuusa nga 18 January,2025.
Wabula ekitongole ky’Amakomera kyakukkiriza ebintu by’Abasibe ebinaaba bireeteddwa ab’enganda zabwe, mu kukuza ennaku za ssekukkulu.
Ekitongole ky’Amakomera kiweze enteekateeka z’Okutwala Abasibe ku Mirimu egy’obwananyini omuli Okubalimisa ku Ssamba z’Ennimiro, Ssonga Abakulira Amakomera balagiddwa okubawa ebyetaago ebimala okubayisa mu nnaku ez’Eggandaalo.
Mu kiwandiiko Ssaabakomera Byabasaija kyafulumizza, aweze n’abantu abatalina kubeera mu Nkambi z’Amakomera okusalimbirayo.#