Abakugu mu kulondoola eby’enfuna mu ggwanga balaze okutya nti amabanja gezze yewola gatandiise okuginyiga, ekigiretedde n’okulemererwa okutekesa mu nkola projects ez’enkizo ezigobererwa mu kutekeratekera eggwanga.
Abakugu bano okwogera bati besigamye ku ngeri government gy’ezze eyongezaayo ezimu ku project ng’egamba nterina ssente zigenda kuzitekesa mu nkola.
Project eyasembyeeyo okwongezebwaawo yey’okubala abantu ebadde erina okukolebwa mu mwezi ogujja ogwa August 2023, ng’abakulu bagamba nti ssente zaabuze.
Eno siye project esoose okwongezebwawo mu mbeera bweti ey’okubulwa ssente; Okulonda kw’obukiiko bw’ebyalo nakwi kwayongezebwawo lwa bbula lya ssente.
BannaUganda abalina endaga muntu ezinaatera okugwako nabo tebamanyi lwezigenda kuzzibwa buggya, olwa government obutaba na nsimbi.
Abakugu mu byenfuna bagamba nti embeera eno evudde ku mabanja government geri mu kusassula, agamazeewo ssente zonna ezirina okukola ku project enkulu mu ggwanga
Julius Mukunda akulira ekitongole ekigatta ebitongole by’obwanakyeewa ebirondoola embalirira ekya Civil Society Budget Advocacy Group (CSBAG) agambye nti amabanja gatandiise okunyiga government, ekyolekedde okukosa obuweereza obusaanidde eri bannansi, ekiyinza n’okuviirako obumenyi bw’amateeka okweyongera.
Julius Mukunda agambye nti okwongezaayo okubala abantu kigenda kuleka abateekerateekera eggwanga lino mu mbeera ey’okutebereza obutrrbereza omuwendo gw’abantu omutuufu oguli mu ggwanga.
Dr Mohammad Kibirige Mayanja omusomesa ow’eby’enfuna agambye nti okwongezaayo enteekateeka ey’okubala abantu kiraga nti government rina ebintu byessako omulaka n’ebyo byetaffaako ng’atte by’ebikulu mu kuteekerateekera eggwanga.
Dr Fred Muhumuza akulira okusomesa eby’enfuna ku ttendekero lya Makerere University Business School agambye nti ekiseera kituuse nti government ettuule yekubemu ttooki mu ngeri gyekwatamu ssente, gyezisaasanyizibwamu n’enneeyisa y’abantu abazivunaanyizibwako.
Okusinziira ku muteesiteesi omukulu mu ministry y’ebyensimbi Ramathan Ggoobi, waliwo ebintu government byegenze okusala ku nsimbi ezibisaasanyizibwako okusobola okuzza embeera mu nteeko.
Government yakendeezezza ku mmotoka ezigulibwa, okuwandiisa abakozi abapya kwasaliddwako, engendo z’abakungu abalina okugenda ebweru w’eggwanga zaasaliddwa,workshops ezitegekebwa mu woteeri zaasaliddwako n’ebirala.
Bisakiddwa: Mukasa Dodovico