Ssetendekero wa Al Qasimia University mu ssaza lye Sharijah mu United Arab Emirates UAE, basse omukago nagamu ku masomero ga primary agali ku musingi gw’eobusiraamu mu Uganda, okusitula ebyenjigiriza mu miti emito.
Agamu ku masomero agageenda okuganyulwa mu ntegeka eno,kuliko essomero lya Al Saudi Junior school Matugga, Bwaise Biral primary ne Anahiyani primary school Kasanje.
Gakufuna abasomesa abakugu naddala abaasomerako mu University ya Al Qasimia, kwosa okubakwatizaako ku project zenkulakulana nga byonna ssetendekero oyo yateekamu sente.
Omukolo ogwokwanjula ettu elyo gukoleddwa ssenkulu wa AL Qasimia University HE Jamal Salim Al Tulaifi,nga gubadde kusomero lya Ali Saudi Junior school e Matugga.
Omuyima w’abayizi abaasomerako mu University ya Al Qasimia mu UAE abegattira mu kibiina ki Al Qasimia University Students association of Uganda Matovu Abudarah Twaha, agambye nti bingi byebageenda okufuna mu nteekateeka eno naddala abayizi okuva obuto nga bakugu mukusoma ekitabo ekitukuvu ekya Quran, era waliwo omukisa munene okugeenda okwegata ku University eyo.
Abakungu okuva mu ssetendekero oyo oluvude e Matugga , batuseeko ku Makerere University okusisinkana abajiddukanya, era Matovu Twaha ategeezezza nti bingi Uganda byegenda okufuna singa sente ezigeenda okusooka okutekebwa mu masomero ago ku mutendera guno ogusooka zinakozesebwa bulungi.
Kinajjukirwa nti ne President Yoweri Kaguta Museveni gyebuvuddeko bweyali e Dubai,yatuukako musazza eryo erya Sharijah era president walyo era nga ye mutandisi wa University eyo Al Qasimia neyeyama okuyambako Uganda mu kuzimba eddwaliro ery’omulembe.
Bisakiddwa: Mubarak Ssebuufu Junior