Abasuubuzi abakolera mu katale ke Kajjansi ababadde bamaze ebbanga erisoba mu myaka 2 mirambirira bukyanga akatale kakwata omuliro bafunye kukamwenyumwenyu, kagguddwawo baddemu bakakkalabye egyabwe.
Abakulembeze ba district ye Wakiso nga bakulembeddwamu ssentebe Matia Lwanga Bwanika basoose kukalambula okumanya embeera gyekalimu, nebakaggulawo era abasuubuzi batandikiddewo okukakoleramu.
Ssemwogere Sonny ssentebe w’akatale Kano asabye district okwongera okubayambako ku nsonga y’amasanyalaze ne kasasiro, byebagamba nti babisasulira ensimbi mpitirivu.
Bisakiddwa: Tonny Ngabo