Abasuubuzi ababadde bakolera ku nguudo z’e Busega ne mu katale akakadde akabadde ku nkuluungo y’e Busega mu Kampala bonna baagobeddwawo nebayingira mu katale akapya.
Taxi ezibadde zitikkira ku makubo e Busega nazo zaayingiziddwa mu paaka empya eriraanye akatale.