Akakiiko k’eggwanga akebyokulonda ka The Electram Commission of Uganda kagala ensimbi ezenyongoreza obuwumbi 502 okutambuza emirimu egikwata ku byokulonda kw’akalulu ka 2026.
Ku nsimbi zino, obuwumbi 263 zigenda kukozesebwa okusasula obuuma obukwaata ebinkumu obumanyiddwa nga biometric voter verification machines obugenda okukozesebwa mu kulonda.
Mu kusooka, akakiiko kebyokulonda kagamba nti kaali kaateebereza nti obuuma buno bunaasasaanyizibwako ensimbi obuwumbi bwa shs 53 ,wabula olwa tekinologiya eyabwongeddwako, kyaletedde ensimbi okulinnya nga Kati bwakuwementa obuwumbi bwa shs 263.
Obuwumbi obulala 19 bwakugulirako empeereza endala emanyiddwa nga duplication system nti etambulira ku buuma buno obwa biometric voter verification machine.
Obuwumbi 2 n’obukadde 400 bwakukozesebwa okukuba mu kyaapa ky’eggwanga ebifo ebironderwamu, songa obuwumbi 25 bwakukozesebwa okugula ebikozesebwa mu kulonda ebimala olw’omuwendo gwebifo ebironderwaamu okweyongera obungi.
Obuwumbi 9 obulala bugenda kusaasaanyizibwa okugula tekinologiya anaalondoola entambula yebikozesebwa mu kulonda nentambula yebivudde mu kulonda okuva mu bifo ebironderwamu okutuuka webigattirwa nebikozesebwa okuva ku kakiiko kebyokulonda okugenda mu bifo ebironderwamu.
Obuwumbi 32 bigenda kukozesebwa okutendeka abagenda okukozesa obuuma bwa biometric voter verification machine
Obuwumbi obulala 46 bwakukozesebwa okukubisa obululu nebikozesebwa mu kulonda olwebifo omulonderwa ebyeyongedde obungi.
Ebifo ebironderwamu ebyasooka okubalirirwa byali emitwalo 38,515 okudda ku bifo emitwalo 53,571.
Obuwumbi bwa shs 73 bwakukozesebwa okusasula ensako n’omusaala gwaba polling officials abayambako mu kulonda ku lunaku lwokulonda lwennyini.
Okusaba kwembalirira eyenyongereza kuno, kuli mu kakiiko ka parliament akavunaanyizibwa ku mbalirira yeggwanga ekyekkenenyezebwa.
Parliament egenda kuddamu okutuula era ng’embalirira y’ennyongereza y’akakiiko k’ebyokulonda, yeemu ku kuzisuubirwa okwanjulwa eyisibwe.
Okulonda kwakubaawo nga 15 January 2026, nga bannauganda bakutandika n’okulonda president, ababaka ba parliament ne ba Mayor.#












