Akakiiko ke byokulonda mu ggwanga kalabudde abasunsuddwa bonna ku bifo by’ababaka ba parliament mu kalulu ka 2026 okusigala nga bakuuma amateeka n’ebiragiro ebyabaweereddwa, era kabasabye okulabira ku besimbyewo ku bwa President, engeri ennungi gyebeyisaamu.
Mu butongole akakiiko kamalirizza okusunsulamu abantu bonna abegwanyiza okwesimba ku bifo by’ababaka ba Parliament ebyenjawulo.
Bakukiikirira district za Uganda 146, nga enteekateeka eno ekulunguludde ennaku bbiri.
Mu mbeera eno akakiiko kazzeemu okujjukiza abasunsuddwa bonna obutakola kampeyini kuba tezinakirizibwa, okutuusa nga 10 omwezi ogujja ogwa November,2025.
Okusinziira ku mwogezi wa kakiiko k’ebyokulonda Julius Muchunguzi, enteekateeka okutwalira awamu etambudde bulungi, tebaddemu kusoomozebwa kw’amaanyi.
Julius yebazizza abakuuma ddembe olwengeri gyebatebenkezaamu okusunsula kuno, ne watabaawo mbeera yonna yabujjagalalo.
Mungeri yemu Julius asabye abasunsuddwa nti ne kampeyini bwezinaaba zigguddwawo, nti balina okusigala nga bagoberera amateeka, akalulu kasobole okuggwa mu mirembe.
Mu mbeera eno okusunsula okubadde ku Kitebe ekikulu ekyakakiiko Kano mu Industrial Area mu Kampala, kitegerekese nti abantu 77 bebasunsuddwa ku mitendera 4.
Munno kubaddemu abegwanyiza okukikirira abavubuka mu Parliament, abakadde, abaliko obulamu naabagala okukiikirira abakozi.#









