Akakiiko keby`okulonda kagamba nti munnabyabufuzi yenna amala okusunsulwa, amateeka ge ggwanga tegakyamukiriza mu bikolwa byakusasanya ssente, gamba ng’okudduukirira abali mu bwetaavu nga babawa obuyambi, okusima nayikonda, okukola enguudo, okusonda ssente ku mikolo , nebirala ebiringa ebyo.
Ssentebbe wakakiiko keby`Okulonda mu ggwanga Omulamazi Simon Mugenyi Byakama, ategezeeza nti oyo yena anakwatibwa lubona nga amansamansa ssente ng`ate amaze okusunsulwa, tebagenda kulonzalonza kubasazaamu.
Akakiiko keby`okulonda era kasabye amasinziizo mu ggwanga obudde buno agalina enteekateeka ez`okusonda ssente gasooke gaziyimiremu okutuusa ng`ebyokulonda biwedde, kubanga bakizudde nti banabyabufuuzi bangi ensangi zinno batandise okweyambisa yekaalu zamukama ng`obutuuti bw`okunonyezaamu akalulu
Byakama agamba nti tewali munnabyabufuzi yenna akkirizibwa kukolera kakuyege mu masinziizo, amasomero n’amalwaliro, naye ate bakizudde nti abakulu bano batandise okuyitira mu Kawefube w`okusonda ssente nebeyisizaawo ebyabwe.
Mu mbeera yeemu Omulamazi Byabakama agugumbudde banabyabufuuzi abamaliriza okusunsulwa nebadda ku mikutu gyamawuliire nebogerera akakiiko keby`okulonda amafukuule, agambye nti kino bakikola mu bukyamu era omuntu yenna alina okwemulugunya akutwale butereevu gyebali.#
Ebivudde mu bimu ku bitundu ebisunsudde
Kampala Central divison:
Akulira okulondesa mu Kampala Central Robert Mugabe agambye nti abantu 90 beebasunsuddwa okwesimbawo ku bifo ebyenjawulo wabula nga abeesimbyewo obwa Nnamunigina beebasinga obungi.
Ku bwa Mayor bwa Kampala central, Kataabu Moses, Uhuru Salim ne Anifa Mpungu basunsuddwa.
Lubaga division:
Abantu abasuka mu 200 bebakasunsulwa okuvuganya ku bifo ebyenjawulo mu gombolola eno.
Ku bano abakasunsulwa kwekuli ba meeya 4 okuli Kasibante Moses owa DF ,Siraje Kifampa owa Pff nabalala ababiri abatalina bibiina kwebajidde.
Ebifo biri 42 abesimbyewo byebalina okuvuganyaako.
Nakawa division:
Akulira eby’okulonda mu Nakawa Collebu Tukashaba agambye nti bawandiisizA abantu 141 okuvuganya ku bifo ebyenjawulo.
Abawandiisiddwa ku bwa mayor kuliko munnaNRM Susan Zawedde, owa.NUP Ali Bukeni amanyiddwa nga Nubian Li.m abazze nga tebaliba bibiina kuliko Mugerwa Nyenje Ronnie , Peterson Kamya ne Paul Mugambe.
Makindye Ssabagabo:
Akulira ebyokulonda mu district ye Wakiso, Tolbert Musinguzi, alangiridde 4 bagende bavuganye ku kifo kyobwa mayor wa Makindye Ssabagabo.
Kubano kulikayo munakibiina Kya NRM Galabuzi John Bosco Sserunkuuma, Kawuma Sadrac ne Kayongo Abas bombi bazze nnamunigina ate Zziwa Mugagga Yusfu ajidde ku NUP.
Mukono municipality:
Omuwendo gwaabo abegwanyiza obwa mayor we kibuga Mukono gweyongedde,
Abasunsuddwa kuliko Munna NRM Mulimira Micdad ne Henry Senyonjo atalina kibiina, nga bano begasse kwabo abasoose okusunsulwa okwabadde Erisa Mukasa Nkoyooyo yesimbyewo Nnamunigina, Robert Kabanda owa Nup, ne Mathew Mutyaba nga naye talina kibiina mweyajjidde.
Akulira ebyokulonda e mukono Muganzi Mark Mayanja ategeezezza nti omuwendo gw’abasunsulwa gugenda gukendeera buli lunaku.#