Omugoba wa bodaboda agambibwa okubeera mu lukwe lw’ okunyaga obuwumbi bwa shs 2 mu maka g’omuwanika w’ekibiina kya NRM e Bukasa, asindikiddwa ku alimanda okutuuka nga 19 March,2024.
Ivan Lukungu eyeyita Palaso ow’emyaka 26 agguddwako emisango 4 mu kooti y’omulamuzi esooka e Makindye.
Lukungu omutuuze we Kabuuma mu Makindye Ssabagabo mu district ye Wakiso , asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka Ann Sarah Basemera tamukkirizza kubaako kyanyega mu kooti oluvannyuma lw’okumusomera emisango naamusindika ku alimanda.
Lukungu ye muntu owe 13 abaakavunaanibwa mu musango guno, kuliko n’abasirikale ba police abakuuma abebitiibwa.
Bavunaaniddwa ogw’okubbisa eryanyi, okusangibwa n’ebibbe, okukweka ebibbe n’emirala.
Oludda oluwaabi lulumiriza 13 bano n’abalala abakyayiggibwa nti ng’ennaku z’omwezi 5 December,2023 mu Kyeitabya Zone mu muluka kwe Bukasa Makindye Division nga babagalidde emmundu banyaga ebintu ebyenjawulo ku bantu, omwali n’ensimbi enkalu 2,241,000,000.
Ensimbi zino baazibba mu maka g’omuwanika wa NRM Barbra Nekesa Oundo, neboonoona camera yo munjuye, essimu ye n’ebirala.
Abantu bano bebamu kigambibwa babba essimu za Sarah Kimono 2, ekika kya Alcatel ne Itel; Fatima Muduwa baamubbako essimu kika kya Huawei 19, ate Bahati Naikikwe baamubbako Techno Spark 19.#
Bisakiddwa: Betty Zziwa