Ekibiina ekiddukanya omupiira ku semazinga Africa ekya CAF kikakasizza amawanga 3 okuli Morocco, Angola ne Libya okukiikirira Africa mu mpaka z’ensi yonna eza FIFA Futsal World Cup ez’omwaka guno.
Empaka zino zigenda kubeerewo okuva nga 14 September okutuuka nga 06 October,2024 mu Uzbekistan.
Morocco egenda kukiika mu mpaka zino oluvanyuma lw’okuwangula empaka za Africa zeyatagese era nga eziwangudde omulundi ogw’okusatu ogw’omuddiringanwa.
Morocco ku fayinolo yakubye Angola goolo 5-1, ate nga Libya yeyakutte ekifo eky’okusatu.
Morocco egenda kukiika mu mpaka FIFA Futsal World Cup omulundi ogw’okuna, ate nga Angola egenda kukiika omulundi ogw’okubiri.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe