Ekibiina ekiddukanya omupiira ku semazinga Africa ekya CAF kifulumizza entegeka y’okukwata obululu obw’ebibinja obw’empaka za Africa Cup of Nations ez’omwaka guno 2025, omukolo gugenda kubeera mu Mohammed V National Theatre mu kibuga Rabat ekya Morocco.
Obululu buno bugenda kukwatibwa ku Monday 27.
Amawanga 24 okuli nga ne Uganda mweri gegagenda okusengekebwa mu bibinja ebyenjawulo.
Amawanga gano kuliko Algeria, Angola, Benin, Botswana, Burkina Faso, Cameroon, Comoros, Ivory Coast, DR Congo, Misiri, Equatorial Guinea ne Gabon.
Abategesi aba Morocco, Mali, Mozambique, Nigeria, Senegal, South Africa, Sudan, Tanzania, Tunisia, Zambia, Zimbabwe ewamu ne Uganda.
Morocco yeegenda okutegeka empaka za Africa Cup of Nations 2025.
Zigenda kuzannyibwa okuva nga 21 December omwaka guno okutuuka nga 18 January 2026.
Empaka zino zigenda kubeera za mulundi gwa 35 nga zitegekebwa, era Morocco egenda kutegeka empaka zino omulundi ogw’okubiri, nga yasooka kuzitegeka mu 1988.
Uganda Cranes egenda kuvuganya mu mpaka zino omulundi ogw’omunaana, wabula nga yasinga kukola bulungi mu mpaka za 1978 ezaali e Ghana. Mu mpaka zino yatuuka ku final naye abategesi aba Ghana ne bawangula ekikopo bwe baakuba Uganda goolo 2-0.
Ivory Coast be bannantameggwa be mpaka ezasembayo zebategeka, era ku final baakuba Nigeria goolo 2-1.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe