Amawanga ataano gayiseewo okwesogga omutendera gw’ebibinja, ogw’okusunsulamu amawanga aganakiika mu mpaka za Africa Cup of Nations,ezinabeera mu Ivory Coast omwaka ogujja 2023.
Kuliko South Sudan yawanduddemu Djibouti ku goolo 5-2, Sao Tome and Principle ewanduddemu Mauritius ku goolo 4-3, Lesotho ewanduddemu Seychelles ku goolo 3-1, Eswatini ewanduddemu Somalia ku mugatte gwa goolo 5-1.
Botswana yayisewo nga tevuganyizza oluvanyuma lwa Eritrea obutetaba ku mutendera guno ogusooka ogwa ‘preliminary round’.
Kati omutendera guno gusigaddeko omupiira gumu wakati wa Chad ne Gambia ogusuubirwa okuzanyibwa enkya nga 29 march 2022.
Omuwanguzi wakati wa Chad ne Gambia egenda kuweza omugatte gwa ttiimu 6 okuva ku mutendera guno ogwa preliminary, okwegatta ku 42 okuli ne Uganda ezigenda okuvuganya ku mutendera ogusembayo ogw’ebinja ogw’okusunsulamu amawanga aganakiika mu mpaka za AFCON 2023.
Empaka za AFCON ezisembyeyo eza 2021 zaabadde Cameroon, Senegal bebanantameggwa.