Poliisi e Ssembabule ekutte omuvubuka Swaibu Kanyama agambibwa nti ku ssaawa ttaano ez’ekiro ekikeesezza leero abuuse ekikomera n’agwa mu maka g’omubaka omukyala ow’e Ssembabule Mary Begumisa. Kigambibwa nti Kanyama alina ekikyamu ku bwongo wabula poliisi etandikiddewo okukinoonyerezaako.Omubaka Beegumisa tabaddeemu ng’ali Kampala.
Bino webijjidde nga Begumisa yeekubidde enduulu mu palamenti ng’ayagala obukuumi obw’enjawulo ng’aliko byeyeekengedde.Omwogezi wa poliisi mu Sembabule akakasizza bino.