Omuyivu Dr. Jimmy Spire Ssentongo nebanne bwebaatandiika enteekateeka y’okwolesa ebitatambula bulungi mu ggwanga, nga bakozesa omutimbagano babakanye na gwakwolesa ebitatambula bulungi mu by’okwerinda n’obutebenkevu bw’eggwanga.
Batunuulidde police ,amagye nebitongole byebyokwerinda ebirala.
Baatandiikira ku mwoleso gw’ebinnya ebyafuuka empompogoma mu kibuga Kampala, era oluvannyuma lw’omwoleso ogwo government yasitukiramu okuziba ebinnya mu nguudo, wadde nga n’okutuusa kati bannakampala bakyalaajana olw’ebinnya ebimeruka mu nguudo kumpi buli lunaku
Omwoleso gw’ebinnya olwaggwa neboolekera embeera y’ebyobulamu mu ggwanga, nga boolesa amalwaliro agali mu mbeera embi ,omujjuzo mu malwaliro ga government, obuli bwenguzi mu malwaliro n’ebirala.
Dr Jimmy Spire Ssentongo ng’ayita ku kibanja kye ekya Twitter agambye nti okutandika leero olwa monday nga 22 May,2023 omwoleso gwolekedde ba bya kwerinda.
Basuubirwa okwolesa embeera embi abasirikale ba police gyebawangaaliramu, omuli ennyumba mwebasula eziri mu mbeera embi ,okutyoboola eddembe lyabannansi okukolebwa abebyokwerinda, obulyi bwenguzi obukolebwa ebebyokwerinda n’ebirala.