Abóluganda lwómugenzi Sheik Abas Kirevu baddukidde mu kakiiko kéddembe lyóbuntu.

Ab’oluganda lw’omugenzi Sheik Muhammed Abas Kirevu eyattibwa abakuuma ddembe ku lwókuna lwa ssabbiiti ewedde ku bigambibwa nti abadde yenyigira mu bikolwa ebyókuvujjirira nókuwandiisa abayeekera ba ADF, era abatega bbomu ku kibuga Kampalabaddukidde mu kakiiko kéddembe ly’obuntu mu ggwanga aka Uganda Human Rights commission kabayambeko okuzuula abantu babwe abazze bakwatibwa okuva Sheik Kirevu lweyattibwa.

Abaakwatibwa kuliko bakyala be babiri nómwana, naye abóluganda baategezezza nti ye omwana yalabise, abalala tebamanyiddwako mayitire nókutuusa kati. Sheik Kirevu yakubwa amasasi mu maka ge e Katereke Nsangi mu town council ye Kyengera mu district ye Wakiso.

Muganda w’omugenzi Imam Ibrahim Abas Kirevu agamba nti bagezezzako okutuukirira ebitongole by’okwerinda okubawa abantu babwe, nekitasoboka kwekuddukira mu kakiiko kéddembe lyóbuntu.

Bagala nákakiiko era kabayambeko okufuna fayiro egambibwa nti muganda wabwe omugenzi Kirevu yali yasibwako mu kkomera olwókwenyigira mu bikolwa bye bimu , wabula bbo abóluganda bagamba nti muganda wabwe abadde tasibwangako.

Omukulembeze wéggwanga ku lwómukaaga oluwedde yategezezza nti waliwo nábantu abalala bangi bebakyawenja abagambibwa nti babadde bayekera ba ADF, era nti bebaateze bbomu ku Kampla ezasse abantu musanvu nábalala abasoba 30 nebasigala nébisago ebyámaanyi, era nti bebaali ne mulukwe lwókutta minister wébyémirimu nénguudo Gen. Katumba Wamala, omwafiira muwala we Brenda Nantongo ne ddereeva we Haruna Kayondo