Abantu 3 bafiiriddewo, nabalala 7 nebafuna ebisago eby’amaanyi, mu kabenje akaagudde e Nawanyago ku luguudo oluva e Jinja okudda e Kamuli.
Omwogezi wa police mu kitundu ekya Busoga North ASP Kasadha Mike, agamba nti Loole eyabadde ekubyeko ebikajjo nga nabatissi batudde waggulu ku bikajjo, yeyalemeledde omugoba waayo neeva ku kubbo neegwa.
Kasadha agamba nti abeetissi bawandagadde ebikajjo nebibagwiira.
Bisakiddwa: Kirabira Fred