Bya Issah Kimbugwe
Ekitundu kye Kamwokya kifunye ekisaawe ekyómulembe ekituumiddwa Kamwokya Community Sports Center,ewagenda okuzannyibwa emizannyo egyenjawulo, okusitula ebitone byábavubuka.
Emizannyo egigenda okuzannyibwa mu kisaawe kino kuliko okubaka, Volleyball, Futsal, handball ne basketball.
Ku kisaawe kino kuteekeddwako ekifo abatuuze b’e kitundu kyebaneyambisa okukoleramu emikolo egitali gimu.
Kamwokya Community Sports Center kizimbiddwa aba Ameropa Foundation okuva e Germany.
President w’ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’ebikonde mu Uganda, Moses Muhangi,bwábadde atongoza ekisaawe kino asabye government eyongere amaanyi mangi mu kusitula ebyémizannyo, nti kubanga bikola kinene okutumbula ebitone bya bavubuka n’okubawa emirimu.
Muhangi agambye nti government eteekeddwa okwongera amaanyi mu by’emizannyo omuli okuzimba ebisaawe mu bitundu by’e ggwanga ebyenjawulo naddala ebirimu abantu abangi.
Muhangi asuubizza okutandikawo club y’e bikonde mu kitundu kino eya Kamwokya Community Boxing Club.
President wa Ameropa Foundation, Celine Miescher, agambye nti omulimu gwókuzimba ekisaawe kino Kamwokya Community Sports Center bagusaasanyirizako ensimbi obuwumbi bwa shs 4.
Abakozi 70 bebakoze omulimu gw’okuzimba ekisaawe kino, kubaddeko abakyala 15.