Ekitongole ekivunaanyizibwa ku musolo mu ggwanga ekya URA kironze akulira ebiweerezebwa ku mpewo za CBS, Abby Mukiibi ng’omukozi asinze okusomesa banna Uganda ensonga z’omusolo nebazitegeera bulungi.
Ekitongole kino kigamba nti mu bakozi ba Radio bonna mu ggwanga Abby Mukiibi akoze enjawulo y’amaanyi naddala ng’atikula ekitongole kino omugugu ogw’okusomesa buli muntu okumanya ebikwata ku musolo.
Emuwadde engule emusukulumya ku bakozi ba radio abalala okwetoloola eggwanga lyonna, era engule eno ya muwendo okusinziira ku zizze zigabwa.
Robert Kalumba omwogezi w’ekitongole kya URA agambye nti Abby Mukiibi Takoma ku kusanyusa bantu wabula awabula n’ebitongole , nga URA kungeri gyebalina okumanyisanyu banansi ku nsonga y’emisolo.
Abby Mukiibi oluvannyuma lw’okukwasibwa engule eno, yeyanzizza Ssaabasajja Kabaka olw’okutandikawo Radio eno,ekoze ekinene okumufuula kyali, era neyebaza n’olukiiko olukulembera Radio eno.
Abasasuzi b’omusolo ab’enjawulo nabo baweereddwa engule ku mukolo ogutegekeddwa ekitongole kya URA okubasiima olw’okugusasula obulungi nebatuukiriza obubunaanyizibwa bwabwe nebasukkuluma ku balala.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif