Police mu kibuga Masaka eri ku muyiggo gw’abazigu abalumbye essuundiro ly’amafuta erya Mogas erisangibqa mu Nyendo Kayirikiti nebakuuliuta n’ensimbi ezitamanyiddwa muwendo.
Obunyazi buno bubaddewo ku ssaawa nga 4 n’eddakiika 15 mu kiro, abazigu bwebatadde abakozi ku mudumu gw’emmundu nebabanyagako ensimbi.
Waliwo abantu ababadde bagenze okunywa amafuta, bebakubidde police etuuse mu bwangu, era newanyisiganya amasasi n’abazigu.
Omwogezi wa police e Masaka Kasirye Twaha agambye nti abasirikale babwe 2 okuli Kwesiga John, Nayebwa Milly balumiziddwa, saako emmotoka y’omusirikale wa police abadde azze okudduukirira ekubiddwa amasasi.
Police esuuzizza magazine y’emmundu namba saako ebisosonkole by’emmundu, byegenda okwesigamako mu kunoonyereza kwetandise.
Bisakiddwa: Tomusange Kayinja.